Rtd Col Kizza Besigye ne munne Hajji Obeid Lutale, bagaanye okudda mu kkooti enkulu mu Kampala, bwe kiba omulamuzi wa kkooti eyo, Emmanuel Baguma alemeddeko misango gyabwe.

Besigye ali ku misango gy’okulya mu nsi olukwe n’okumanya ku misango egyo ne basirika ng’ali ne Hajji Obeid Lutale, ssaako munnamaggye Capt Dennis Oola.

Besigye ne munne, bali ku limanda mu kkomera e Luzira okuva nga 20, November, 2024, lwe yasindikibwayo kkooti y’amaggye.

Wabula, bagamba nti wakiri okufiira mu kkomera, okusinga omulamuzi Baguma, okuzannyira misango gyabwe nga yava dda ku sseemateeka.

Bannamateeka baabwe nga bakulembeddwamu Eron Kiiza ne Kato Tumusime basabye ekitongole ekiramuzi, okunoonya omulamuzi omulala, ayinza okwekeneenya emisango gyabwe okusinga okudda mu maaso g’omulamuzi Baguma.

Nga 8, August, 2025, omulamuzi Baguma yagobye okusaba kwa Besigye ne Lutale okweyimirira, bannamateeka nga bakulembeddwamu omuloodi Ssalongo Erias Lukwago ne basaayo, okulala. Wabula bagamba nti kikafuuwe omulamuzi Baguma eyagobye okusaba kwabwe ate okuddamu okuwuliriza okusaba gw’omulundi Ogwokubiri, okubadde kutandiika enkya ya leero – https://www.youtube.com/watch?v=M7jcKWWkgJE&list=RDM7jcKWWkgJE&start_radio=1