Poliisi evuddeyo ku bigambo ebiri mu kutambula eby’omukyala eyasobezeddwako ssaako n’abasajja abakwatiddwa.

Okusinzira ku sitetimenti ya Poliisi, nga 23, August, 2025 ku ssaawa nga 5 ez’ekiro, Poliisi y’e Kajjansi, yayingiza omusango gw’okusobya ku mukyala, omusibi w’enviri, omutuuze we Zana e Makindye mu disitulikiti y’e Wakiso.

Omukyala agamba nti mu July, 2025, e Lubowa, yasanga Ngobi Simon era ne bawanyisiganya enamba z’essimu.

Nga 23, August, 2025 bakaanya okusisinkana wabula kigambibwa yamuwa omwenge omwali muteekeddwa ebintu.

Oluvanyuma, omukyala yatwalibwa mu Canaan Estate, Akright, Kajjansi era agenda okutegeera obulungi nga Ngobi Simon ne mukwano gwe, ategerekeseeko erya Chairman, bamaze okumusobyako.

Omukyala, amangu ddala yakubira Poliisi essimu era Poliisi bwe yatuuka, yasobola okumwekebejja era yasobola okusanga nga yeesibidde mu kisenge mwe yaddukira oluvanyuma lw’okumusobyako.

Yatwala ebizibiti omuli

Essuuka ezaali ku buliri, omukyala kwe bamuteeka

– Emmotoka ekika kya Subaru namba UBP 276F, Ngobi ne munne mwe baali batambulira.

Mu kiseera kino, Ngobi ne Chairman, baliira ku nsiko ate ebizibiti biri ku Poliisi e Kajjansi.

Wabula Poliisi evuddeyo olw’ebigambo ebiri mu kutambula nga waliwo abali mu kwemulugunya.

Abali mu kwemulugunya bakyebuuza lwaki Poliisi

– Yatutte emmotoka n’amasuuka

– Bagamba nti Poliisi yekubidde nnyo ku ludda lw’omukyala.

Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso, okutuusa nga bazudde ekituufu ku bigambibwa nti emmotoka yatwalibwa olwa Ngobi n’abasirikale okufuna obutakaanya – https://www.youtube.com/watch?v=M7jcKWWkgJE&list=RDM7jcKWWkgJE&start_radio=1