Essanyu libugaanye obwa Kyabazinga bwa Busoga, Inhebantu wa Busoga Jovia Mutesi bw’azaaliddwa Isebantu abalongo William Wilberforce Kadhumbula Gabula Nadiope IV abalongo.
Abalongo abalangiriddwa bazaaliddwa wiiki ewedde ku Lwokusatu nga 27, August, 2025.

Abalongo, baweereddwa amannya okuli
- Prince William Ethan Nadiope
- Prince Arnold Eli Nadiope
Isebantu yawasa Inhebantu nga 18, November, 2023 ku mukolo ogwa ku Christ Cathedral Bugembe.
Mu kiseera kino, Obusoga buli ntekateeka, okujjaguza amatikkira ga Kyabazinga nga 14 September 2014.