Kkooti enkulu mu Kampala, ewuliriza emisango egiri ku mutendera gw’ensi yonna, ebadde ekubirizibwa omulamuzi Andrew Bashaija, eyongezaayo emisango egivunaanibwa Nasser Nduhukire, amanyikiddwa nga Don Nasser.

Don Nasser myaka 39 nga mutuuze mu zzoni ya Kito mu disitulikiti y’e Wakiso, ali ku misango gy’okusobya ku mwana omuwala myaka 16 ssaako n’okumukukusa.

Omuwala eyavaako obuzibu,  yamugya ku Tagore apartments e Kamwokya, namutwala makaage mu zzooni ya Kito e Kira era mbu yamusobyako okumala ennaku 4, okuva nga 23 okutuusa nga 27, May, 2024.

Don Nasser, yayimbulwa dda, kakalu ka kkooti ka bukadde 3 ez’obuliwo era enkya ya leero, asobodde okuleeta munnamateeka omupya Evans Ochieng okutambuza emisango gye.

Omulamuzi alagidde oludda oluwaabi, okuleeta ebizibiti mu kkooti okuli amassimu,  Ppaasipooti n’ebintu ebirala byonna, okubyekeneenya nga tebannaba kutandiika musango.

Omulamuzi ayongezaayo omusango okutuusa nga 17, September, 2025.

Kinnajukirwa nti mu July, 2025, kkooti yagonya okusaba kwa Don Nasser okumuvunaana bwe yali yemulugunya engeri gye yakwatibwamu nti yawambibwa okuva mu ggwanga erya Kenya ne bamutulugunya. Kkooti yategeeza okusinzira ku bujjulizi nti Don Nasser yayingira Uganda mu mateeka mu October, 2023https://www.youtube.com/watch?v=5ldqnuYt9Do