Omusajja abadde mu kaboozi ne Malaaya aswadde mu maaso g’abasuubuzi olw’omuliro okukwata ekifo kyonna.
Olunnaku olw’eggulo, omuliro gwakutte loogi emanyikiddwa nga Kigoonya mu Kisenyi mu kiseera ng’abasuubuzi bali ku mirimu gyabwe.
Kigambibwa omu ku bakyala abatunda omukwano yabadde mu kimu ku bisenge bya loogi ng’anywa mmindi, ekyavuddeko omuliro, okukwata ekifo kyonna.
Mu kiseera ekyo, omu ku bakyala yabadde mu kaboozi n’omusajja kasitoma era yalabiddwako ng’adduka okuva mu kazigo ng’empale eri wansi mu magulu.
Omusajja yabadde adduka ate ng’omukyala alemeddeko ayagala ssente ze shs 5,000.
Okunoonyereza kulaga nti omuliro gwavudde ku mmindi era kigambibwa mu kiseera kyo, loogi yabaddemu abantu abasukka 20 wabula bonna, balabiddwako nga badduka mu ngeri y’okutaasa obulamu.
Ekirungi, Poliisi ya bazinya mwoto yatuuse mu budde era yasobodde okuzikiza omuliro okusobola okutaasa abatuuze n’emmaali y’abasuubuzi mu Kisenyi.
Wabula abasuubuzi n’okutuusa kati bakyebuuza omukisa omusajja gwe yafunye, okulya malaaya ku bwereere kuba omuliro gwamuwadde omukisa – https://www.youtube.com/watch?v=YolFbiHutjI&t=129s