Poliisi e Nsangi, etandiise okunoonyereza ku kivuddeko omukyala omutuuzi w’akaboozi malaaya okufiira mu loogi mu ngeri etabudde abatuuze.
Malaaya ategerekeseeko erya Patricia, abadde mutuuze we Kasenge mu Tawuni Kanso y’e Kyengera.
Okunoonyereza kulaga nti yabadde mu loogi ya Sanyuka n’omusajja Muwonge Godi amanyikiddwa nga Kabaka Aperu okuva ku Ssande nga 7, September, 2025 nga basasudde ssente 10,000.
Kigambibwa okuva ku Sande nga bagenda ekiro okunywa ne badda kumakya okwebaka.
Wabula ku mulundi guno, bagenze okudda nga Patricia mutamiivu nnyo era okuyingira mu kisenge, omusajja yasobodde okumutaasa.
Nga batuuse mu loogi, omusajja asobodde okugula amata, okendeza ku ttamiiro wabula Patricia mu ddakika ntono, abadde amaze okufa.
Omulambo gusindikiddwa mu ddwaaliro e Mulago okwekebejjebwa, Muwonge yadduse dda aliira ku nsiko nga ne Poliisi eguddewo fayiro, okunoonyereza.
Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti Poliisi eyingidde mu nsonga ezo okunoonyereza ku nfa ya Patricia.
Poliisi y’e Nsangi mu kiseera kino erina fayiro y’omukyala okufa – https://www.youtube.com/watch?v=GdjOVIir9TA