Poliisi y’e Hoima ekutte ssemaka ku by’okulima n’okutunda e njaga.

Pithuwa Opio atemera mu myaka 65 nga mutuuze ku kyalo Kyakasaato mu ggombolola y’e Kigorobya yakwattiddwa.

Opio asangiddwa n’enimiro y’enjaga ate mu nju mwasangiddwamu ensawo z’enjaga, kw’abadde atoola, okusuubuza abantu ku kitundu n’okusingira ddala abavubuka.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo (Albertine regional), Julius Hakiza, Opio okwatibwa, kidiridde okutemezebwako abatuuze nga kivudde ku bikolobero okweyongera mu kitundu kyabwe olw’abantu abanywa enjaga omuli obubbi, okusobya ku bakyala, okukwata abawala n’ebirala.