Bannansi mu bitundu bye Malawi bali mu kuyisa bivvulu oluvanyuma lwa Peter Mutharika myaka 85, okuddamu okuwangula obwa Pulezidenti bw’eggwanga.

Okusinzira ku biva mu kakiiko k’ebyokulonda, Mutharika yakafuna ebitundu 57 ku 100 ate Pulezidenti Lazarus Chakwera myaka 70 alina ebitundu 33 ku 100.

Lazarus Chakwera

Chakwera nga yali Pasita nga tannaba kuyingira mu byabufuzi, akkiriza nti awanguddwa era asobodde okukwata essimu, okuyozayoza Mutharika okutuuka ku buwanguzi.

Mutharika, yali musajja musomesa w’amateeka ku Yunivasite era yali Pulezidenti wa Malawi wakati wa 2014 – 2020 nga yawangulwa Chakwera mu kalulu.

Bannansi bagamba nti Chakwera abadde alemeddwa okuvaayo okutaasa ensi n’okusingira mu byenfuna, abantu bali mu mbeera mbi, ebbula ly’emirimu nga y’emu ku nsonga lwaki basobodde okukomyawo Mutharika okutaasa embeera.

Mu ggwanga lya Malawi, akakiiko k’ebyokulonda kalina ennaku 8 okulangirira omuwanguzi era kagamba nti kalina okukola ku nsonga zonna, okwewala okukola ensobi.

Mu 2019, kkooti enkulu mu ggwanga, yasazaamu obuwanguzi bwa Mutharika nga bagamba nti okulonda mwalimu ebirumira bingi nnyo era mu kuddamu okulonda mu 2020, Chakwera yafuna omukisa okuwangula okulonda.

Mukulu wa Peter Mutharika, Bingu wa Mutharika  yaliko Pulezidenti wa Malawi okuva May, 2004 okutuusa lwe yafiira mu ntebe mu April, 2012 – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=66s