Agava mu United Arab Emirates, galaga nti munnayuganda Charles “Abbey” Mwesigwa yakwatiddwa.
Mwesigwa yalabikira mu kunoonyereza kwa BBC nga y’omu ku bantu abegumbulidde okukusa abawala n’okusingira ddala okuva mu Uganda okutwalibwa mu kibuga Dubia, okudda mu kwetunda ku buwaze.
Mu kunoonyereza, yategeeza nti omuwala yenna ayinza okuweebwa $1,000 (shs 3,476,354) okutwalibwa ku kabaga k’okusinda omukwano ekiro kiramba.
Mu kiseera kino, Gavumenti ya United Arab Emirates tennaba kuvaayo, okutegeeza ensi, Mwesigwa ali ku misango ki.
Kigambibwa Mwesigwa ali mu kaduukulu ka Central Prison Centre mu bitundu bye Al Awir, Dubai.
Wiiki ewedde, ekitebe kya Uganda mu UAE kyafulumya alipoota nga bategeeza nti bali mu kunoonyereza ku misango gy’okukusa abantu era tewali muntu yenna gwe bagenda kuttira ku liiso.
Mu United Arab Emirates, okwetunda kumenya amateeka era mu kiseera kino, abaludde nga bakola ne Mwesigwa okutwala abaana abawala okwetunda, baliira ku nsiko.
Okunoonyereza era kulaga nti ebikolwa bya Mwesigwa, byavaako n’abamu ku bawala okwetta omuli Monic Karungi ne Kayla Birungi – https://www.youtube.com/watch?v=_XE3j-6N7yU