EBINTU bya bukadde bisaanyiziddwawo nabbambula w’omuliro, akutte katale ka Madhvani e Jinja nga busasaana enkya ya leero.
Ebiyidde kuliko fiirigi, emmere ey’ebika ebyenjawulo, eby’okunywa, amasa n’ebintu ebirala.
Okusinzira ku Ashraf Musenze omu ku batuuze mu kitundu, agambye nti abasuubuzi, bagezezaako nnyo okuzikiza omuliro kyokka ne balemwa.
Mu kuwayamu ne 100.2 Galaxy FM, abasuubuzi abafiriddwa emmali yabwe, babadde maziga era bawanjagidde Gavumenti okuvaayo okubaduukirira.
Ate ssentebbe w’akatale akayidde Badiru Mugabi, alumiriza Poliisi y’abazinya mwoto okuleeta emmotoka esoose nga tebalina mazzi ekiviridde emmali yaabwe, okugwawo.
Ku nsonga eyo, akulira Poliisi y’abazinya mwoto ku Poliisi y’e Jinja Agaba Collins, awakanyiza ebigambibwa nti, emmotoka gye basoose okuleeta yabadde nkalu nga temuli mazzi.
Mungeri y’emu agambye nti abasuubuzi okuzimba akatale nga temuli makubo amatuuf, kizibuwaza nnyo omulimu gwabwe, ogw’okuzikiza omuliro.