Dayirekita w’essomero atemeddwa ebiso
Abatuuze ku kyalo Ngandu mu ggombolola y’e Mukono Central mu kibuga Mukono, bawanjagidde Poliisi okunoonya abatemu, abebijjambiya, abatambulira ku Pikipiki mu kitundu kyabwe.
Abatemu abo, bazindukirizza Geoffrey Mayanja Ssezibwa myaka 54, Dayirekita we ssomero lya JesyJonny Day and Boarding Primary School, bwe yabadde akedde okugenda ku ssomero, ne bamutemateema ebijjambiya ku mutwe ssaako n’amagulu ku ssaawa nga 11 ez’okumakya.
Okusinzira ku mukyala wa Dayirekita Penninah Nakabuye, abatemu bazze nga bali 3 nga bali ku Pikipiki, ne batemateema bba, oluvanyuma ne batwala ebintu eby’enjawulo, bwe yabadde asemberedde okutuuka ku ssomero.
Agamba nti yatemeddwa ng’abayizi balaba naye nga kizibu okuvaayo okutaasa.
Mu kiseera kino, Director eyatemeddwa ali mu ddwaaliro lya Mukono Church of Uganda wabula bbo abatuuze n’omukyala bali mu kutya.
Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti okunoonya abatemu, kutandikiddewo kuba essimu ekika kya Samsung Note 10 yatwaliddwa ssaako n’ebintu ebirala – https://www.youtube.com/watch?v=FINRwhYd-9Q