Bannansi mu ggwanga erya Kenya, bakyakungubaga olw’okufa kwa Raila Odinga, eyaliko Ssaabaminisita wa Kenya, 2008 – 2013.
– Odinga agenda kuziikibwa ku Ssande e Bondo mu ssaza lye Siaya.
– Pulezidenti yalangiridde ku Lwokutaano, lunnaku lwa kuwumula mu ggwanga lyonna.

– Odinga agenda kuziikibwa okumpi ne nnyina Mary Juma Odinga weyaziikibwa.
– Nnyina Mary Juma Odinga, yafa nga 5, November, 1984 ate Kitaawe Jaramogi Oginga Odinga yafa nga 20, January 1994.
– Gavumenti yamuwadde ‘State Funeral’

Entekateeka z’okuziika Odinga, zikulembeddwamu amyuka Pulezidenti w’e Kenya Kithure Kindiki ne mukulu wa Odinga, Dr. Oburu Oginga.
– Okusinzira ku famire, Odinga yali yasaba aziikibwe mu ssaawa 72 zokka
– Olunnaku olw’enkya ku Lwokutaano, bagenda kusabira omwoyo gwa Odinga n’okujjukira ebirungi byakoledde eggwanga mu kisaawe kya Nyayo.

– Oluvanyuma, omulambo gugenda kutwalibwako mu makaage e Karen.
– Ku Lwomukaaga, omulambo gugenda kutwalibwa mu kisaawe kya Moi e Kisumu okuva ku ssaawa 3 ez’okumakya okutuusa 9 ez’akawungeezi.
– Oluva ku kisaawe kya Moi, omulambo gutwalibwe mu maka e Bondo, okuziikibwa ku Sande akawungeezi – https://www.youtube.com/watch?v=dmC2fI7EuvQ