Kyaddaki akakiiko k’ebyokulonda, kalangiridde olunnaku, bannayuganda lwe bagenda okulonda omukulembeze w’eggwanga lino mu 2026.
Okusinzira ku ntekateeka, Bannayuganda bagenda kulonda ku Lwokuna nga 15, January, 2026.
Wabula akakiiko era kakoze enkyukakyuka ku nnaku za Kampeyini ne bongezaayo ennaku, ez’okufundikira Kampeyini okuva nga 12, January, 2026 okutuusa nga 13, January, 2026.
Simon Byabakama, ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda, agamba nti bakoze enkyukakyuka ezo, okuteeka mu nkola sseemateeka kyagamba nti Kampeyini zirina, okukomekerezebwa nga wasigadde essaawa 48 zokka, bannayuganda okulonda abakulembeza baabwe.

Enkyukakyuka mu nnaku za Kampeyini, zitwaliddemu n’abo, abagenda okuvuganya okukiika mu Palamenti ssaako ne Gavumenti ez’ebitundu.
Bino agenze okubyogera ng’olunnaku olw’enkya, akakiiko k’ebyokulonda, keyongedde okwetekateeka, okutandiika okusunsula abegwanyiza okukiika mu Palamenti y’eggwanga.
Abagenda okusunsulwa, basabiddwa buli omu okujja
– Amannya g’abantu 10 okuva mu Konsituwense ate nga balonzi
– Okusasula ssente obukadde 3
– Okulaga Agenti wo
– Abantu 2 abagenda okuwagira omuntu yenna okwesimbawo
– Olina okuba ng’oli munnayuganda, emyaka 18 okudda waggulu ate ng’oli mulonzi
– Ng’olina empapula z’obuyigirize
– Kampeyini zigenda kutandiika okuva nga 10, November, 2025
Byabakama abalabudde, okwewala okwenyigira mu bintu byonna ebimenya amateeka – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A