Minisita avunanyizibwa ku by’ensimbi n’okutekerateekera, Matia Kasaija, agumiza abalimi nti Gavumenti yetegese, okugula kasooli wabwe ku shs 500 buli Kiro.

Minisita Kasaija mu kwogerako eri bannamawulire ku Media Center mu Kampala enkya ya leero, abikudde ekyama nti Gavumenti etaddewo bbiriyoni 100 eri abasuubuzi abesobola, ebibiina by’obwegasi n’ebitongole ebyenjawulo, okwewola, basobole okugula kasooli yenna.

Abalimi
Abalimi

Agamba nti ensimbi bbiriyoni 50 zakuva mu Banka ya Uganda enkulu ate bbiriyoni endala 50 zakuva mu Bank y’ebyobusubuzi.

Mungeri y’emu awanjagidde abalimi obutekyusa, bakirize shs 500, okusinga okutunda kasooli wabwe shs 150 buli kiro.

Minisita Kasaija era awanjagidde abalimi, okukuuma omutindo gwa kasooli nga temuli mayinja wadde kasasiro kuba singa kibalema, abasuubuzi bagenda kumwesamba.