Poliisi ezudde ebintu ebiwerako, ebiteberezebwa okubeera ebibbe ebisangiddwa mu maka agamu mu bitundu bye Kyebando central zooni mu disitulikti y’e Kampala era okunoonyereza kutandikiddewo.

Ebizuliddwa kuliko Kompyuta, pikipiki namba UEK 618Y, emizindaalo, ebyuma ebiteberezebwa okumenya amayumba, n’ebintu ebirala.

Luke Owoyesigyire
Luke Owoyesigyire

Okusinzira ku omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirwano, Luke Owoyesigyire waliwo abakwatiddwa era okubuliriza kutandikiddewo.