Poliisi, ereese ebizibiti okuli emmundu bbiri ez’ekika kya SMG ne basitoola by’egenda okweyambisa, okuvunaana mu kkooti omubaka we Kyadondo East mu Paalamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine era essaawa yonna, bamutwala mu kkooti y’amaggye ne munne gwe yabadde akubira kampeyini Kasiano Wadri eyeesimbyewo ku ky’omubaka wa Paalamenti mu bitundu bya Arua.
Poliisi egamba nti emmundu emu yabaddemu amasasi 30 n’endala ng’erimu 30 zaggyiddwa mu kasenge Bobi Wine ne Wadri mwe baabadde bagenda okusula mu woteeri emanyiddwa nga ‘Pacific’ mu kibuga Arua.

Poliisi yagambye nti mu kasenge kano baasanzeewo n’amakerenda 46 agalabika okuba enjaga, basitoola n’amasasi 8, essimu za ‘smart phone, bbendera za Uganda ssatu, enkofira emmyuufu, T-shirt n’ebintu ebirala.

Mu kwogerako eri bannamawulire, omwogezi wa Poliisi mu bugwanjuba bw’obukiikakkono bwa Uganda (West Nile) Josephine Angucia, agambye nti mu kikwekweeto kyabwe, abantu 35 bakwatiddwa Poliisi era essaawa yonna bakutwalibwa mu kkooti ezenjawulo okuvunanibwa.

Omubaka Bobi Wine ne Kasiano Wadri bagguddwaako emisango gy’okulya mu nsi olukwe, okuba n’emmundu n’okukunga abantu okukola effujjo omwafiiridde ne ddereeva Yasin Kawuma, okwasa endabirwamu ku emu ku mmotoka z’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni.