Poliisi y’e Mukono ekutte omussomesa abadde yegumbulidde okusobya ku baana basomesa nga abasuubiza okubawa ssente eza School fees emitwalo ebiri (2) buli mwana.
Abdul Zziwa atamera mu gy’obukulu 43, omusomesa ku St Steven Primary School e Nakapinyi, yakwatiddwa ku misango gy’okujjula ebitanajja era mu kiseera kino, ali mu kaduukulu ka Poliisi ku CPS e Seeta.
Kigambibwa, Zziwa abadde akozesa abaana 3 okuli owe 13, 14 ne 15.
Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza era omussomesa wakutwalibwa mu kkooti ku misango egyenjawulo omuli okusobya ku baana.