Kkooti esokerwako e Gulu esindiise ku Limanda mu kkomera lye Gulu omubaka omuggya eyakalondebwa abantu be Arua Kassiano Wadri, abakaka abalala 3 n’abantu babuligyo 30, okutuusa nga 30, August, 2018 ku misango gy’okulya mu nsi yabwe olukwe.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, Kassiano Wadri ne banne okuli Paul Mwiru, Kassiano Wadri ne Gerard Karuhanga n’abantu babuligyo abalala bakwata amayinja ne bakuba emmotoka z’omukulembeze w’eggwanga lino, emu endabirwamu neyiika, ekintu ekimenya amateeka era bonna basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Francis Matenga Dawa.

Omulamuzi Matenga takiriza muntu yenna kunyega kigambo kyona kuba emisango  gye baliko gya naggomola egitekeddwa okuwulirwa kkooti enkulu yokka.

Wabula munnamateeka wa bavunanibwa Medard Lubega Ssegona awanjagidde omulamuzi okuyimbula abantu be, basobole okufuna obujanjabi kuba bakubiddwa abasirikale era bonna bali mu mbeera mbi.

Ssegona anokoddeyo omukyala Night Asara nti ali mu mbeera mbi nga kiteberezebwa nti yakubiddwa mu lubuto kuba atandiise okuvaamu omusaayi mu bitundu by’ekyama nga n’abalala okuli Shaban Atiku, Gamba Tumusiime ne Jane Abola nabbo bakubiddwa nnyo era tebasobola kutambula bulungi.

Wabula omulamuzi Matenga agaanye okuyimbula omuntu yenna era alagidde abakulira ekkomera lye Gulu okukola kyona ekisoboka abantu bonna abalumizibwa, okufuna obujanjabi.