Bya Nalule Aminah
Bannamateeka abasuuka mu 15 abavaayo okuwolereza abantu abakwatibwa mu bitundu bye Arua, baduukidde mu kakiiko k’eddembe ly’obuntu aka Uganda Human Rights Commission mu Kampala nga bemulugunya ku ngeri abantu babwe gye bayisibwamu.
Bannamateeka nga bakulembeddwamu Omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, Asuman Basalirwa, Nicholas Opiyo, Andrew Kalamagi n’abalala basisinkanyeko ssentebbe w’akakiiko, Meddie Kaggwa era bamukwasiza ekiwandiiko ekikambwe, ekitekeddwamu ensonga zabwe omuli engeri gye bakwatamu abantu n’okubatulugunya, omuli Omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine, ow’e Mityana Francis Zaake n’abalala.

Mungeri y’emu balopedde akakiiko, ebitongole ebikuuma ddembe okulemesa abasawo okuwa Bobi Wine obujanjabi okuva mu basawo b’obwananyini ate ng’ali mu mbeera mbi n’okulemesa bannamateeka okusisinkana abantu babwe mu kyama.
Lukwago agamba nti balina okukola kyona ekisoboka okutuusa nga Bobi Wine agiddwa mu kkomera kuba alina okufuna obujanjabi obwetagisa.
Ku nsonga eyo, Ssentebbe w’akakiiko Meddie Kaggwa asuubiza okuyingira mu nsonga zabwe.