MINISITA wa guno na guli, Haji Abdu Nadduli, awangidde effujjo eryakoleddwa ku babaka ba Palamenti omuli omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ne  Francis Zaake ow’e Mityana ali mu ddwaaliro e Rubaga mu kiseera kino.

Nadduli awagidde eky’okutulugunya ababaka bonna kuba bali batambadde eddembe ly’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ekintu ekimenya amateeka nga batekeddwa okubisasulira.

Bobi Wine
Bobi Wine

Bwe yabadde yakamala okusaala Iddi mu disitulikiti y’e Luweero ku muzikiti gwe Kasana, agamba nti mu nsi yonna tewali muntu yenna akirizibwa kuyingirira n’okwenganga oluseregende lw’emmotoka z’omukulembeze w’eggwanga era ekyakolebwa Bobi Wine ne banne mu disitulikiti y’e Arua kimenya amateeka era ekyabatukako tekyewunyisa.

Mu kiseera kino, Bobi Wine bamukuumira mu kkomera ly’amaggye e Makindye ku misango gy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa omuli n’emmundu, omubaka Zaake ali mu ddwaaliro e Rubaga mu mbeera mbi, ababaka abalala okuli Kassiano Ezati Wadri, Paul Mwiru, Gerald Karuhanga, Michael Mabike eyali omubaka w’e Makindye East n’abantu babuligyo abasuuka 30 basindikibwa ku limanda mu kkomera e Gulu ku misango gy’okulya mu nsi olukwe.