Poliisi mu Kampala etadde emisango emikambwe ku abantu abakwatibwa mu kwekalakaasa okwabadde mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo ku Mmande ya sabiti eno.

Mu kwekalakaasa, amaloboozi gawuliddwa nga bemulugunya ebigenda mu maaso mu ggwanga lyabwe omuli engeri gye bakubyemu omubaka we Mityana Francis Zzaake akyali mu ddwaaliro e Rubaga ne Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ali ku misango gy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa omuli amasasi n’emmundu.

Bobi Wine
Bobi Wine

Poliisi mu kubagumbulula yakutte abantu abasuuka mu 100, kyoka mukusunsulamu basigaza abantu 78 era baguddwako emisango egyenjawulo omuli okukuma mu bantu omuliro era fayiro z’emisango zasindikiddwa eri ssaabawaabi wa Gavumenti okulambika Poliisi ku misango egyo.

Abali ku misango egyo, bagibwa mu bitundu ebyenjawulo omuli Kisekka, Nasser Road, Nakasero Market ne Katwe era bagaliddwa ku Poliisi ezenjawulo okuli Kampala mukadde, ku Poliisi e Katwe ne CPS mu Kampala.

Luke Owoyesigyire
Luke Owoyesigyire

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, bonna abakwatiddwa bakutwalibwa mu kkooti ku misango egibavunanibwa.