Kyaddaki omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine agiddwako emisango gyona egyamugulwako egy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa omuli emmundu, amasasi n’ebintu ebirala.
Enkya ya leero, kkooti y’amaggye etudde Gulu ng’ekulembeddwamu ssentebbe waayo Lieutenant General Andrew Gutti balangiridde nti emisango gyona egibadde givunaanibwa Bobi Wine gimugiddwako.
Wabula bannamateeka ba Robert Kyagulanyi Ssentamu nga bakulembeddwamu Medard Lubega Segona batabukidde kkooti okukumira omuntu wabwe mu kaduukulu ng’ali mu mbeera mbi ate nga yetaaga obujanjabi ku mbeera gye bamutusaako.
Kkooti ewumudde okumala eddakika 10 okusalawo ekiddako.
Lindirira ebisingawo…………….