Omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine aguddwa omusango gw’okulya mu nsi olukwe mu kkooti esokerwako e Gulu enkya ya leero.
Omulamuzi Yunus Ndiwalana agambye nti Bobi Wine ne banne abasuuka 30 okuli omubaka Kasiona Wadri, Paul Mwiru, Gerald Kaluhanga n’abalala, sabiti ewedde nga 13, August, 2018, bakasuka amayinja mu luserengende lw’emmotoka z’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni mu bitundu bya Arua, ekyavirako emu ku mmotoka okwasibwa endabirwamu neyiika we bali bakomekereza okunoonya akalulu, k’okujjuza ekifo eky’omubaka wa Arua okudda mu kifo kya Ibrahim Abiriga eyatibwa era Kasiona Wadri eyali avuganya nga talina kibiina yawangula okulonda okwo

Bobi Wine takiriziddwa kwogera kigambo kyona kuba omusango gwe gwanaggomola era asindikiddwa ku Limanda okutuusa nga 30, August, 2018, lw’alina okudda mu kkooti ne banne.
Omulamuzi Ndiwalana era akiriza Bobi Wine okufuna obujanjabi okuva mu basawo be oluvanyuma lwa munnamateeka we Medard Lubega Segona okutegeza kkooti nti omuntu we yakubwa era ali mu mbeera mbi.