Eyali aduumira Poliisi mu ggwanga lino Gen. Edward Kale Kayihura enkya ya leero, bamuleesa mu kkooti y’amaggye e Makindye ekubirizibwa Lieutenant General Andrew Gutti okuwerenemba n’emisango gye.

Mu kiseera kino ebyokwerinda binywezeddwa era Gen. Kayihura ayambadde Kombati y’amaggye ng’akabonero akalaga nti akyali munnamaggye.

Okusinzira ku musasi waffe, ab’enganda, ab’emikwano za Gen. Kayihura batuuse kyoka abamu tebanaba kukirizibwa kuyingira.