Zzina Sosh yabaddewo olunnaku olw’eggulo ku Kyadondo Rugby Grounds era yasombodde abantu bangi ddala n’okusingira ddala abavubuka.
Abayimbi omuli Gravity Omutujju, Spice Diana, Roden Y Kabaako, Fik Fameica, Feffe Bussi n’abalala, bebakyamudde abadigize.
Ekivvulu kya Zzina Sosh kitegekebwa 100.2 Galaxy FM buli mwaka era ku mulundi gunno kyawagiddwa kampuni ezenjawulo omuli Movit, Coca-Cola, aba African Queen, Ecobank Uganda, International Hospital Kampala n’endala.












