Yunivaasite y’e Makerere eyongeza ensimbi z’ebyobulamu ezigibwa ku bayizi buli mwaka okuva ku 10,000 okudda ku mitwalo 50,000.
Emitwalo 40,000 ezongeddwamu, kikoleddwa okutukiriza ensimbi ezayongezebwa ku School Fees, ebitundu 15 ku buli 100 n’okutandiika omwezi oguwedde ogw’omunaana.
Okusinzira ku Prof. Josaphat Byamugisha akulira eddwaaliro lya Yunivaasite y’e Makerere, ssente zakusasulwa abayizi bonna buli mwaka era zigenda kuyamba nnyo okwanguya n’okulongoosa entambuza y’emirimu mu ddwaaliro.
Ate Dr. Margret Wandera eyaliko akulira eddwaaliro lyerimu, agambye nti ssente 10,000 zibadde tezimala kutambuza mirimu era mu kiseera kye, bafuna obuzibu mu by’okujanjaba abayizi.
Okunoonyereza kulaga nti abayizi ku yunivaasite endala omuli Kyambogo, Mbarara University of Science and Technology – MUST basasula emitwalo 50,000 buli buli semisita.