Poliisi ekutte abakyala babiri (2) ku ttemu eryakoleddwa ku munnansi wa Rwanda, eyattiddwa ku Mmande ekiro ku ssaawa 9.
Abakwattiddwa kuliko Jovia Tumwesige ne Meron Musimenta nga bonna bakozi mu bbaala emanyikiddwa nga Go Down Bar ku kyalo Katikara mu ggoombolola y’e Kyabigambire mu disitulikiti y’e Hoima.
Kigambibwa bafunye obutakaanya n’omusajja munnansi wa Rwanda ategerekeseeko erya Twizerimana, ekyavuddeko okulwanagana.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Albertine, Julius Hakiza, Twizerimana yakubiddwa ennyo omutwe, yasangiddwako ebiwundu era omusaayi ogwamuvuddemu gwavuddeko okufa kwe.
Hakiza agamba nti abakyala abakwattiddwa okuyambako Poliisi mu kunoonyereza n’okuzuula ekyavuddeko okulwanagana.