Omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Robert Mukanza ayongezaayo omusango oguvunanibwa abantu omwenda (9) abakwatibwa ku by’okutta omukyala Suzan Magara.

Enkya ya leero, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Patricia Cingitho lutegezeza omulamuzi Mukanza nti bakyagenda mu maaso era ne basaba okubongera obudde.

Omulamuzi alagidde abavunanibwa badizibweyo ku limanda mu kkomera e Luzira, okutuusa nga 19, September, 2018.

Abagambibwa okutta Suzan Magara
Abagambibwa okutta Suzan Magara

Abavunanibwa okuli Mahad Kisalita, Imam ku muzikiti gwa Usafi, Yusuf Lubega ne Muzamiru Ssali nga bavuga bodaboda, Hussein Wasswa nga mussomesa.

N’abalala okuli Hajara Nakandi Abubaker Kyewolwa, Hassan Kato Miiro, Ismail Bukenya ne Musa Abbas Buwembo bagulwako emisango 2 egya naggomola omuli okuwamba n’okutta Suzan Magara.

Magara yawambibwa nga 7, February, 2018 okuva okumpi n’amaka we yali asula e Lungujja mu ggoombolola y’e Lubaga, nattibwa nga 27,February, 2018 era omulambo gwe gwasangibwa Kigo mu disitulikiti y’e Wakiso nga gusuliddwa mu nsiko.