Poliisi y’e Kakumiro ekutte abantu bataano (5) ku by’okutta omusubuuzi Edivina Nabukenya sabiti ewedde ku Lwokuna.

Nabukenya omulambo gwe, gwasangibwa mu nsiko mu town council y’e Kisiita okumpi n’akatale nga gutugiddwa.

Omugenzi yali mutuuze ku kyalo Kisiita East mu town council y’e Kisiita mu disitulikiti y’e Kakumiro.

Okusinzira kw’addumira Poliisi mu kitundu ekyo, Hassan Katumba Mugwerwa, 5 bakwatiddwa okuyambako Poliisi mu kunoonyereza kw’eriko.

Abakwate kuliko abakyala 3, n’abasajja 2, era Poliisi egaanye okwatukiriza amannya gabwe kuba kiyinza okutaataganya okunoonyereza.