Munnamateeka wa Eddie Ssebufu amanyikiddwa Edie Mutwe, kanyama w’omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), awandikidde ssenkulu w’ekitongole ekinoonyereza ku muisango mu ggwanga ekya CID, okusaba omuntu we okuyimbulwa mu bwangu.

Munnamateeka Eron Kiiza okuva mu kibiina ekya Kiiza and Mugisha Advocates mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa nga 6, September, 2018, ekyasindikiddwa eri akulira ekitongole ekinoonyereza Grace Akullo asabye omuntu we ayimbulwe.

Mu kiwandiiko, awadde ensonga mpitirivu ddala kyoka emu ku nsonga ezinokoddwayo kutyobola dembe lya Edie Mutwe ne Poliisi okugyemera ekiragiro kya kkooti enkulu okutwala Edie Mutwe mu kkooti.

Kinnajjukirwa nti Gavumenti yategezeza nti Edie Mutwe ali mu mikono gya Poliisi era essaawa yonna bamutwala mu kkooti e Gulu avunanibwe emisango egivunanibwa banne egy’okulya mu nsi olukwe kuba kiteberezebwa y’omu kwabo abakuba emmotoka y’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni amayinja neyiika endabiramu mu bitundu bya Arua nga 13, August, 2018.