Ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni olunnaku olw’enkya ku Lwomukaaga nga 8, September, 2018, agenda kwogerako eri eggwanga.
Museveni akulungudde sabiti namba mu ggwanga erya China mu lukungana olwa Forum on Africa-China Cooperation mu kibuga Beijing, olugendereddwamu okutumbula enkolagana wakati wa Africa ne China omuli eby’obusuubuzi, ebyokwerinda era akomyewo mu ggwanga olunnaku olwaleero.

Olunnaku olw’enkya ku Lwomukaaga, kisubirwa nti Pulezidenti Museveni agenda kusoosowaza ennyo ensonga y’ebyobufuzi ebigenda mu maaso mu ggwanga, ensonga y’ebyokwerinda n’ensonga z’abavubuka.

Mungeri y’emu Museveni asuubirwa okwogera ku nsonga z’abakaka ba Paalamenti abakubwa ne bakwatibwa ku misango gy’okulya mu nsi olukwe omuli omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), Mityana Francis Zaake n’abalala.