Omujjulizi owokubiri mu musango oguvunanibwa Abdallah Kitatta ne banne 12 awakanyiza ebigambibwa nti basangibwa n’emmundu, engoye z’amaggye n’amasasi.

Abavunanibwa ne Kitatta
Abavunanibwa ne Kitatta

Corporal. Richard Wanyama okuva mu kitongole kya Chieftaincy Military Intelligence [CMI] ekinoonyereza ku butujju aleteddwa Maj. Rapheal Mugisha akulira oludda oluwaabi mu kkooti y’amaggye e Makindye, ekubirizibwa Lt Gen Andrew Gutti.

Corporal. Wanyama agamba nti wadde y’omu kwabo abaliwo ng’abavunanibwa bakwatibwa nga 19, January, 2018, tajjukira nti basangibwa n’emmundu wadde ekyambalo ky’amaggye.

Ku bantu 13 abavunanibwa emisango gy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa omuli emmundu mu ngeri emenya amateeka n’ebyambalo by’amaggye, Corporal. Wanyama abadde ajjukirako abantu babiri (2) bokka abakwatibwa nga bagezaako okulemesa ebitongole ebikuuma eddembe okukola emirimu gyabyo.

Omulamuzi Lt Gen Gutti omusango agwongezaayo okutuusa nga 25, September, 2018 era Kitatta ne banne baziddwayo mu kkomera.