Poliisi y’e Kalungu etandiise okunoonyereza ku ngeri namukadde omukyala atemera mu gy’obukulu 70 gye yattiddwamu.

Maria Nakate abadde omutuuze ku kyalo Kulubya Cell mu Town Council y’e Lukaya yasangiddwa mu nnyumba ye nga yattiddwa.

Omulambo gwe, gwasangiddwa ku ttaka, ebintu ebintu by’omu nju nga bisaasaanyiziddwa, essimu ye nga bagyasiza era kiteberezebwa nti abaamusse baamaze ku musobyako ne bamunyoola ensingo.

Okusinzira ku ssentebbe w’ekyalo Kulubya Cell, Anatoli Mutebi, Nakate abadde mukyala wanjawulo nnyo era awajagidde Poliisi okunoonyereza abenyigidde mu ttemu eryo.

Akulira y’e Kalungu, Vianney Birungi agamba nti omulambo gwa Nakate gwasangiddwa abatuuze olunnaku olw’eggulo ku Mmande kyoka kiteberezebwa nti yattibwa ku Ssande ekiro.

Birungi asabye abatuuze okwatagana ne Poliisi okunoonya abatemu.