Poliisi mu Kampala ekutte abantu bataano (5) ku by’okubba n’okutunda sipeeya w’emmotoka enzibe.

Abakwattiddwa kuliko Joseph Magoba, Willy Kizza, Gregory Luyinda, Henry Matovu ne Mustafah Kayondo myaka 26 era bagiddwa mu bitundu bye Nansana.

Ekikwekweeto, kyakulembeddwamu akulira Poliisi y’e Nansana SP. Benard Katwalo oluvanyuma lw’abatuuze okwemulugunya ku bubbi bw’emmotoka obweyongedde.

Abakwate baasangiddwa mu kibangiriza ekimu mu kitundu kye Nansana nga baliko emmotoka ekika kya Toyota Noah namba UAR 157N, gye bapanguludde okutunda sipeeya.

Emmotoka endala eyasangiddwa ng’epanguluddwa kuliko UAK 982B eyabibwa nga 29, August, 2018 okuva ku mutuuze Joshua Lubega Babulira.

Mu kikwekweeto abakwatte basangiddwa ne sipeeya w’emmotoka ezenjawulo era bakumibwa ku Poliisi y’e Nansana ku misango gy’obubbi.