Gavumenti efunvubidde okulwanyisa ebikolobero mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo nga bayita mu kuteeka Kamera ku nguudo zonna eza Kampala n’emirirwano.

Okusinzira ku Minisita w’ebyempuliziganya Frank Kagyigyi Tumwebaze, Gavumenti egenda kwewola ssente, obukadde bwa ddoola 144 okuva mu bbanka ezenjawulo omuli Standard chartered bank, okomekereza eddimu ly’okuteeka Kamera ku nguudo.

Minisita Tumwebaze agamba nti kkamera zigenda kuyamba nnyo Poliisi okunoonyereza abatemu abenyigidde mu kutemula abantu mu ggwanga lino, okwekeneenya ebigenda mu maaso mu Kampala n’okutangira obubbi.

Tumwebaze yabadde ku Media Center mu Kampala nategeza nti Gavumenti erina obusobozi okukuuma abantu n’ebintu byabwe.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Emilian Kayima gyebuvuddeko yategeeza nti  omulimu  gw’okuteeka kamera z’okunguudo gwatandika mu mwezi gwa July mu kitundu kya Kampala nga mu kiseeera kino bakamalako kilomita 30 kwezo 1300 zebetaaga okutukamu mu kitundu kya Kampala n’emirirwano.

Kayima agamba nti mu ggwanga lyonna mugenda kusibwamu kamera 5552 nga ekitundu kya Kampala n’emirirwano kyakuberamu kamera 3233 nga zigenda kutekebwa mu  bifo 1248 okusobola okulwanyisa obymenyi bw’amateeka obuli obuzigu n’ettemu.

Mu mwezi gwa October 2018, bagenda kuzimba ekizimbe  awagenda okubeera abasirikale webalondoolera kkamera zonna mu ggwanga gugenda kutandika  ki kitebe kya poliisi e Naguru nga ebitongole byonna eby’okwerinda byakutulamu nga poliisi y’ebikulembeddemu.