Poliisi y’e Mityana etandiise okunoonyereza ku ngeri omwana Ronald Kafeero atemera mu myaka 15 gye yattiddwamu era omulambo gwe, gwasangiddwa nga gulengejja mu kabuyonjo.

Entiisa yabadde ku kyalo Nambaale mu ggoombolola ye Mityana.

Okusinzira ku Alice Namakula omu ku batuuze, omwana yandibanga yatugiddwa olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri emisana, omulambo gwe ne guteekebwa mu kabuyonjo okubuzabuza obujulizi.

Poliisi y’abazinya mwoto okuva e Mityana ng’ekulembeddwamu Vigar Afiman basobodde okugyayo omulambo gw’omwana mu kabuyonjo eyetuuze nga yeyambisa ekyayi ky’ekitooke era guwereddwa abasawo ku ddwaaliro e Mityana okumwekebejja awatali kutaataaganyizibwa okuzuula ekyamusse.

Kyoka omutuuze omulala babaddewo ataagadde kwatuukiriza mannya ge, agambye nti omwana yandibanga yesse olwa nnyina, Agnes Nabatanzi, okumutulugunya era omwana abadde tasoma.
Mungeri y’emu agambye nti omwana abadde yasuubiza dda okwetta ng’akooye embeera embi.