Omusirikale omugundivu, abadde addumira Poliisi mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo Assistant Commissioner of Police, Siraje Bakaleke ali mu kutya, olw’abantu abamusindikira obubaka ku ssimu nti essaawa yonna agenda kuttibwa oluvanyuma lw’okutta Afande Muhammad Kirumira.

Omugenzi Muhammad Kirumira
Omugenzi Muhammad Kirumira

Bakaleke agamba nti afunye okutiisibwatiisibwa okw’enjawulo ng’abantu beyambisa amassimu agenjawulo nga y’emu ku nsonga lwaki ennaku zinno, yekwese.

Ekyama ekyo, kyogeddwa munnamateeka we, Robert Senfuka nategeza nti wadde omuntu we (Bakaleke) alina emisango mu kkooti enkulu egy’okubulankanya ssente, okutya kweyongedde nti essaawa yonna, ayinza okuttibwa.

Kinnajjukirwa nti omuserikale Bakaleke avunanibwa emisango 12 omuli ogw’okuwamba abantu n’alagira atwalibwe ku kkooti avunaanibwe.

Emisango egyagguddwa ku Bakaleke n’abantu abalala munaana kuliko, okweyambisa obubi woofisi 3, okuwamba abantu, okwekobaana ne bazza omusango, okufuna ssente mu lukujjukujju n’emirala.

Omwogezi w’ekitongole ky’omuwaabi wa gavumenti, Jane Kajuga yakakasizza ng’omuwaabi wa gavumenti bwe yalagidde Bakaleke ne banne okuvunaanibwa mu kkooti oluvannyuma lw’okugyekebejja.

Siraje Bakaleke
Siraje Bakaleke

Bakaleke eyaliko omuduumizi wa poliisi mu kitundu kya Kampala South bino webyabeererawo, avunaanibwa n’abaserikale abalala okuli; Isaac Munezero nga y’akulira ofiisi evunaanyizibwa ku by’ekikessi (Crime Intelligence) ku poliisi e Katwe, George Kayongo, Keneth Zirintusa, Patrick Ochen, Samuel Nabeeta n’abalala.

Kigambaibwa nti Bakaleke baakwata Abakorea okuli Park Seunghoon ne Jang Un abajja mu ggwanga okusuubula Zaabu nga babalanga okuyingira mu ggwanga mu bukyamu ne bagezaako okubatikka ku nnyonyi okubazzaayo oluvannyuma lw’okubakuumira mu kaduukulu okumala ennaku bbiri ne babaggyako ssente akawumbi kamu n’obukadde 400.

Oluvannyuma Abakorea bano baatuukirira Flying Squad n’etandikirawo okunoonyereza ne bakwata abasirikale basatu ne baggalirwa mu kaduukulu e Nalufeenya era okunoonyereza kukyagenda mu maaso.