Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ayongedde okwewaana nti nakyemalira ayagalwa nnyo abantu olw’engeri gy’akulembera eggwanga.

Museveni bw’abadde anyonyola eggwanga ku nsonga z’ebyokwerinda n’okusingira ddala mu bibuga ng’asinzira mu maka g’obwa Pulezidenti e Ntebbe mu kiro ekikeseza leero, agambye nti bangi ku bannayuganda bagamba nti nakyemalira era tayinza kubawakanya.

Pulezidenti Museveni agamba nti “nze ndi nakyemalira alondebwa abantu buli myaka 5, nakyemalira akiriza abantu okutambula obudde bwona nga tewali abalemesa, nakyemalira alondebwa abantu mu ggwanga lyona, nakyemalira akiririza mu kulonda”.

Abavuganya mu 2016 ku bwa Pulezidenti

Mungeri y’emu agambye nti abantu balina okomya okweyambisa effujjo n’obulimba nga bagala obuyinza wabula okusembeza amazima mu kampeyini zabwe.

Ku nsonga y’okunyweza ebyokwerinda Museveni agambye nti “abapoliisi bonna balina okubeera n’empuliziganya ebagatta bonna (so ssi masimu). Abapoliisi mukomye okukozesa amasimu okuwuliziganya, musaanidde okweyambisa ‘Radio call. Abaserikale basaanidde okukoma okunyooma abantu ababawa amawulire. buli poliisi mu ggwanga eri okubeera ne nnamba y’essimu etali yaakusasulira abantu kwesobola okukuba ne baloopa gwe baba beekengedde”.