Pulezidenti wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni agumizza bannayuganda nti mu banga lya mwezi (mwenda), Kampala kigenda kuba kibuga kyanjawulo nnyo mu byokwerinda n’abantu okutambulizaamu emirimu gyabwe nga tewali kutya.
Museveni bw’abadde anyonyola eggwanga ku nsonga z’ebyokwerinda n’okusingira ddala mu bibuga ng’asinzira mu maka g’obwa Pulezidenti e Ntebbe, agambye nti mu Kampala bagenda kutekamu kamera ku nguudo zonna, ebitongole ebikuuma eddembe okutumbula enkolagana n’abantu babuligyo.
Pulezidenti Museveni era agambye nti “Ffenna tubeere bulindaala eri abantu abapya mu kitundu, pikipiki empya n’ebidduka by’oba weekengedde tegeeza ku poliisi mu kitundu kyo.
Ate ku ludda lwa Poliisi, Museveni agambye nti “abapoliisi bonna balina okubeera n’empuliziganya ebagatta bonna (so ssi masimu). Abapoliisi mukomye okukozesa amasimu okuwuliziganya, musaanidde okweyambisa ‘Radio call. Abaserikale basaanidde okukoma okunyooma abantu ababawa amawulire n’okusingira ddala abantu babuligyo”.

Museveni okuvaayo, kidiridde ettemu okweyongera ng’abantu battibwa n’emmundu era Afande Muhammad Kirumira yasembyeyo okuttibwa nga 8, September, 2018.