Gavumenti ya National Resistance Movement (NRM) etabukidde abazungu abegatira mukago ogwa Bulaaya, okweyingiza mu nsonga za Uganda nga befudde abategeera ennyo.
Gavumenti okutabuka, kidiridde ekiwandiiko okufulumizibwa Paalamenti y’omukago ogwa Bulaaya, sabiti ewedde 13, September, 2018 nga balambise ensonga ezenjawulo eziteekeddwa okutekebwa mu nkola, Gavumenti ya Uganda ate mu bwangu.
Mu kiwandiiko, Gavumenti bagiragidde okunoonyereza engeri Yasin Kawuma eyali Dereeva w’omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine, gye yattibwamu mu bitundu bya Arua 13, August, 2018.

Mungeri y’emu balagidde okunoonyereza engeri ababaka ba paalamenti ku ludda oluvuganya gye bayisibwamu mu bitundu bya Arua, okusaba Gavumenti n’omukulembeze w’eggwanga okuwa Yoweri Kaguta Museveni okuwa Paalamenti ekitiibwa n’okutambuza emirimu nga tetabanguddwa, omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu okugibwako emisango egimuvunaanibwa (okulya mu nsi olukwe), okomya okutyoboola eddembe ly’abantu nga balemesebwa okwogera ebigenda maaso mu ggwanga lyabwe ne bannamawulire okukubwa nga bali ku mirimu gyabwe.
Abazungu era baalabudde ekitongole ekikuuma eddembe ekya Poliisi, okomya okweyambisa eryannyi n’obukambwe obusukiridde mu kugumbulula abeekalakaasi nga beyambisa amasasi agattirawo n’ensonga endala.

Wabula enkya ya leero, omwogezi wa Gavumenti Ofwono Opondo bw’abadde ayogerako eri bannamawulire atabukidde Paalamenti y’abazungu abbo.
Opondo agambye nti ekya Paalamenti eyo, okulagira Bobi Wine okugibwako emisango, kabonero akalaga nti, beeyingiza mu nsonga za Uganda zebatamanyi n’okwagala okusanyawo entambuza y’emirimu eri ebitongole bya Gavumenti, kye batagenda kukiriza.
Mungeri y’emu abikudde ekyama nti Gavumenti ya Uganda okulemesa abazungu abegatira mukago ogwa Bulaaya, okusasaanya ebisiyaga mu ggwanga lino, y’emu ku nsonga lwaki enuggu, empalana n’akamanyiro byeyongedde.