Poliisi mu Kampala etandiise okuyiga abatemu, abakulembeddemu okutta omusajja amanyikiddwa nga Kisenyi Mike, omulambo gwe ne gusulibwa mu bitundu bye Lungujja.

Okusinzira ku batuuze be Lungujja, emmotoka ekika kya Premio gye batasobodde kwetegereza namber Plate, yeyaleese omulambo gwa Kisenyi nga gusibiddwa emiguwa, ne bagusuula mu bwangu ne baduuka.

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire agambye nti wadde omulambo guweereddwa ab’enganda n’ab’emikwano okutekateeka okuziika, Poliisi etandiise okunoonyereza abatemu bakwatibwe bavunaanibwe.