Poliisi y’e Masaka ekutte aba bodaboda abasuuka 40 lwa kugyemera kiragiro kya mukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni.
Gye buvuddeko, Pulezidenti Museveni yalagira Poliisi okukwata aba bodaboda bonna, abavuga pikipiki nga bambadde jjaketi eziriko ebikofira ku mitwe.

Museveni agamba nti abatemu basukkiridde okweyambisa bodaboda okutta abantu nga mambadde jjaketi eziriko ebikofira okusobola okubika emitwe gyabwe.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Greater Masaka, Lameck Kigozi, abakwattiddwa basangiddwa nga bambadde jjaketi z’ebikofira ate abalala basangiddwa nga babinudde namba Plate nga tezirabika bulungi olw’ebigendererwa ebitamanyiddwa.

Lameck era agambye nti, abakwattiddwa okuyimbulwa, buli omu agibwako emitwalo 4 era ateekeddwa okutukiriza ebyetaago omuli Helment okusobola okumudiza pikipiki.