Gavumenti efunvubidde okutumbula tekinologye n’ebyempuliziganya mu ggwanga lyona, bannansi okwanguyirwa mu ntambuza y’emirimu gyabwe.
Okusinzira ku Minisita wa tekinologiya, amawulire n’okulungamya eggwanga, Frank Kagyigyi Tumwebaze, balagidde emikutu gy’empuliziganya mu ggwanga omuli MTN, Airtel n’emirala, okutekawo embeera nga bakolagana mu layini za yintaneenti okusinga buli kampuni okusima layini yaayo mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo okutuusa yintaneenti ku bantu.
Tumwebaze mu kwogerako eri bannamawulire ku Media Center mu Kampala enkya ya leero, agambye nti Gavumenti ekulembeddemu entekateeka eyo era kigenda kuyambako abantu okufuna obuwereza ku bbeeyi eya wansi.
Mungeri y’emu Minisita Tumwebaze abikudde ekyama nti kabinenti yalagidde ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga ekya Uganda Communication Commissions (UCC) okuzza obuggya layisinsi ya kkampuni ya MTN.
MTN yafuna layisinsi okutambuza emirimu mu ggwanga lino ya myaka 20 mu October wa 1998 era ebadde egwako omwezi ogujja ogwa October wa 2018.