Omubaka we Kyadondo East mu Paalamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine asimbudde enkya ya leero okuva e Bulaaya okudda mu Uganda.
Bobi asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okutegeeza nti akomawo mu Uganda era asobodde okweyambisa Olungereza okugamba nti “Heading home”, asuubirwa ku kisaawe Entebbe ku ssaawa 4 ez’okumakya enkya ku Lwokuna.

Bobi Wine akomyewo mu Uganda, naye biki byaletedde abawagizi be?
Okusinzira ku bakulembeze mu kisinde ekya “People power” omuli Samuel Walter Mukaaku Lubega, Mike Mabiike n’abalala Bobi agenda kutegeeza abawagizi be amangu ddala ng’atuuse, ekiddako mu kampeyini yabwe eya People power, bannayuganda abawangalira ebweru w’eggwanga bye bamusuubiza, okutandiika okusomesa abantu ebikwata ku People power n’okulangirira ky’agenda okuzaako eri obukulembeze bw’eggwanga lino.
Abamu ku bawagizi ba Bobi Wine balina ekirowoozo nti ayinza okwesimbawo mu 2021 okuvuganya Yoweri Kaguta Museveni ku bukulembeze bw’eggwanga lino.