Mu Uganda, omuwala Anita Kyarimpa amanyikiddwa nga Anita Fabiola myaka 24 y’omu ku bawala abatomeza abasajja ebisenge olw’engeri gy’alabika.
Fabiola akoze emirimu egyenjawulo omuli okuwereza ku ttiivi kyoka omulimu gwe omutuufu gwafuna ensimbi okwebezaawo tegumanyiddwa.

Mu Uganda, bangi ku basajja bamwegwanyiza kyoka batono nnyo abafunye ku mukisa okumusemberera ku nsonga z’omukwano.
Wabula ku mukutu gwe ogwa Instagram, waliwo omusajja mu mannya ga Kim Jum akyewunya obulungi bwa Fabiola.

Kim agambye nti Fabiola y’omu ku bawala abatomeza abasajja ebisenge, alabika bulungi nnyo, talimu kirwadde kyona era singa amukiriza, tayinza kumwambalira kondomu olw’obulungi bwe.