Omuyimbi wa Sir Mathias Walukagga atabukidde Gavumenti n’ekitongole kya Poliisi okulwawo okufulumya alipoota ku bantu abazze battibwa mu ggwanga lino.

Walukagga afulumiza oluyimba olutumiddwa “Alipoota” era anokoddeyo abantu abenjawulo abattiddwa mu ngeri ezenjawulo kyoka Poliisi ekyalemeddwa okunnyonnyola bannayuganda lwaki battibwa mu bukambwe kuba elemeddwa okufulumya alipoota.

Sir Mathias Walukagga
Sir Mathias Walukagga

Mu luyimba, Walukagga anokoddeyo abantu abenjawulo abakatibwa omuli Gen Aronda Nyakairima, Maj Gen James Kazini, eyali omubaka omukyala ow’e Butaleja Cerinah Nebanda, owa Arua Ibrahim Abiriga, eyali omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi, eyali aduumira Poliisi ye Buyende Muhammad Kirumira, eyali dereeva wa Bobi Wine, Yasin Kawuma eyali omuyimbi Mowzey Radio n’abalala.

https://www.youtube.com/watch?v=YnsQ52ZheBc