Obutakaanya bweyongedde mu kibiina ky’abayimbi ekya Team No Sleep’ (TNS) era abayimbi okukyabulira.

Wosomera bino, ng’omuyimbi Chozen Blood ayabulidde ekibiina kya Jeff Kiwa ekya TNS era alangiridde manejja omupya Arafat agenda okumuyamba okutumbula omuziki gwe.

Omuyimbi Chozen agamba nti alabye omusana, kye kiseera atambulemu okuva mu TNS atandike obulamu obupya wadde ng’enddagano ye ey’emyaka ebiri (2) ebadde ebuulako myezi.

Chozen Bwe yabuuziddwa ensonga entuufu emuggyeyo, yazzeemu nti “saagala kwogera ku bikadde ebirowoozo n’amaanyi mbitadde ku bulamu obupya n’okutambuza obulamu bwange, ekirungi nvuddeyo nga sirina lutalo na muntu yenna mu kibiina”.

Sheebah ne Jeff Kiwa
Sheebah ne Jeff Kiwa

Mungeri y’emu agambye nti ebbanga lyonna ly’amaze mu TNS, “nfuniddeyo ebirungi bingi wadde nga n’ebitatambudde bulingi nabyo bibadde bingi”.

Wabula kigambibwa nti manejja Jeff Kiwa okusosowaza ennyo Sheebah Kalungi y’emu ku nsonga lwaki Chozen avuddeyo.