Poliisi y’e Mpigi ekutte ssemaka agambibwa okusobya ku kiggala atanneetuuka.
Kwizera Jackson myaka 34 omutuuze ku kyalo Kayabwe mu ggoombolola y’e Nkozi mu disitulikiti y’e Mpigi yakwattiddwa era kigambibwa nti yasangiddwa lubona taata w’omuwala Abraham Ntulume ng’asobya ku muwala we n’alaya enduulu eyasombodde abantu nakwatibwa.

Taata Ntulume agamba nti ssemaka Kwizera abadde ababaza nga bagenze ku mirimu bonna n’ajja mu maka gaabwe n’asobya ku muwala we ng’ate alina obulemu ku bwongo era ng’abadde aludde ng’akikola.
Ssemaka Kwizera olw’okutya okungi yakiriza okusobya ku mwana kiggala era nasaba okusonyiyibwa.
Ku nsonga eyo, Andrew Ainembabazi akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku Poliisi y’e Mpigi, akakasiza okwatibwa kwa Kwizera era agambye nti aguddwako omusango gw’okusobya mu muwala ataneetuuka ate nga kiggala.
Omusango guli ku fayiro namba CRB; 402/2018 ku Poliisi y’e Mpigi.