Poliisi ewakanyiza ebigambibwa nti omusirikale waabwe Assistant Superintendent of Police (ASP) Pamela Kentaro abadde yasindikibwa okubega omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) mu ggwanga erya America gye yali yaduukira okufuna obujanjabi oluvanyuma lw’okukubwa mu bitundu bya Arua nga 13, August, 2018.

Abantu okuvaayo okulumiriza ku nsonga eyo, kidiridde ebifaananyi okufuluma nga ASP Pamela ali ku nnyonyi y’emu ne Bobi Wine ku lunnaku Lwokuna sabiti eno bwe yali akomawo mu Uganda okuva mu America.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Emilian Kayima agamba nti ASP Pamela ne bane babadde bava kusoma era bamanyiganye ne Bobi wadde abantu baategeddeko Pamela yekka.

Pamela ne banne