Eby’okuyimbulwa kwa Abdallah Kitatta omuyima wa kabinja ka bodaboda 2010 byongedde okuwanvuwa era ayolekedde okuvundira mu kkomera.

Olunnaku olw’eggulo ku Mmande, Kitatta yaleteddwa mu kkooti y’amaggye gyeyateeka okusaba okweyimirirwa kyoka abantu bonna 7 abatuula mu kakiiko akatwaala kkooti y’amaggye ekubirizibwa  Lt Gen Andrew Gutti tebalabiseeko era tewali nsonga yonna yawereddwa.

Kigambibwa abakulu abatuula ku kkooti eyo, bageenda mu ggwanga erya Somalia era bakulangirira olunnaku kkooti lwegenda okuddamu okutuula, okusalawo ku nsonga za Kitatta.

Lt Gen Andrew Gutti
Lt Gen Andrew Gutti

Kinnajukirwa nti Kitatta yakasaba okweyimirirwa emirundi ebbiri (2) era alina ensonga ezenjawulo omuli ssemaka alina abakyala n’abaana bateekeddwa okulabirira, musajja mugonvugonvu nga yetaaga obujanjabi, alina amaka agamanyiddwa ku byalo ebyenjawulo.

Mu kkooti yaleeta abantu basatu (3) omuli Sulaiman Walusimbi, Muhammad Kibirige ne Matovu Abu okumweyimirirwa.

Kitatta yakwattibwa nga 21, Janwali, 2018 ku Vine Hotel mu bitundu bye Wakaliga, Nateete mu ggoombolola y’e Rubaga, Kampala ne banne 12 olw’okusangibwa n’emmundu n’amasasi mu ngeri emenya amateeka.